Exodus 22:25-27

25 a“Bw’owolanga ensimbi omu ku bantu bange abali mu mmwe, ng’ali mu kwetaaga, teweeyisanga ng’abawozi b’ensimbi abalala; tomusasuzanga magoba. 26 bBw’otwalanga ekyambalo ky’omuntu ng’akakalu, kimuddize ng’enjuba egenda okugwa; 27 ckubanga ekyambalo kye ekyo kye ky’okwebikka kye kyokka ky’alina. Kale bw’otokimuddiza olwo asule mu ki? Bw’anankaabiriranga nzijanga kumuwuliriza, kubanga ndi wa kisa.

Copyright information for LugEEEE